Matthew 24:45-51

45 a “Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 46 bAlina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 47 cDdala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ 49 dn’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 51 ealimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

Copyright information for LugEEEE